Kkooti ye kinnamagye ekawangamudde bwetegezeza nti abantu 8 nga bakulembeddwamu Abdullah Kitatta balina omusango gwe bateekeddwa okwewozaako.

Kkooti ebadde ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti, agamba nti Kitatta ne banne 7 okuli Fred Bwanika, Ssekajja Ibrahim, Amon Twinomujuni, Matia Ssefuka, John Ssebandeke, Joel kibirige ne Sebbatta Hassan balina emisango gye balina okwewozaako.

Ate abantu basatu (3) okuli Jonathan Kayondo, Sunday Ssemogerere ne Hassan Ssengoba bejjerezeddwa.

Omusango, gwongezeddwayo okutuusa nga 7, January 2019 era Kitatta ne banne baziddwayo ku limanda mu kkomera wakati mu b’enganda okulukusa amaziga.

Omu ku bakyala ba Kitatta
Omu ku bakyala ba Kitatta

Kitatta ne banne batekeddwa okwewozaako emisango gy’okusangibwa n’emmundu, amasasi, ebyambalo by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.

Kitatta yakwatibwa nga 20, January, 2018 ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu Lubaga era ssekukulu agenda  kugiriira mu kkomera.