Poliisi mu Kampala ekutte abantu 42 mu kikwekweeto, ekikoleddwa okufuuza abamenyi b’amateeka abateberezebwa okutigomya bannakampala.

Abakwatiddwa, bagiddwa ku Nebbi Park ne Arua Park mu Kampala era bonna bakumibwa mu kaduukulu ka Poliisi ku CPS mu Kampala ku misango gy’okusangibwa mu bifo ebitakirizibwa era bisangibwamu abanywa enjaga n’ebiragalaragala ebyenjawulo.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire agambye nti bonna bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe essaawa yonna.

Oweyesigyire era agambye nti ebikwekweeto bino bikyagenda mu maaso okusobola okukwata abantu bonna abakyamu mu Kampala.