Omuyimbi Fille Mutoni amanyikiddwa nga Fille alangiridde okuddamu okutegeka konsati ey’okusatu (3) omwaka ogujja ogwa 2019 mu Kampala.

Fille myaka 27 bwe yabadde mu kivvulu kya Fik Fameica ‘My Journey Concert’ yalangiridde okuddamu okusanyusa abawagizi be mu konsati nga 1, March, 2019 wadde ekifo tekinakakasibwa.

Kigambibwa nti ku lunnaku olwo, Fille agenda kutegeza abantu lwaki yayimba oluyimba ” Love Again” kuba bangi ku bannansi bagamba nti yabadde ategeza bba MC Kats omukozi ku NBS TV.

Fille ne MC Kats
Fille ne MC Kats

Fille yegasse ku bayimbi abalala abalina konsati mu 2019 omuli King Saha, Eddy Kenzo, Spice Diana n’abalala.

Mu nsi yonna, omusajja yenna okulaga obusajja bwe, atekeddwa okutukiriza ebintu ebisanyusa omukyala mu mbeera yonna, mu kiseera kino Fille alina konsati era MC Kats atekeddwa okulaga obusajja bwe okukola kyonna ekisoboka mukyala we okufuna abantu mu kivvulu ekyo.