Omulamuzi wa kkooti esokerwako Entebbe Mary Babirye kyaddaki ayimbudde omugagga Nasser Nduhukire ali ku misango gy’okufuna ssente mu lukujjukujju.

Kigambibwa Nduhukire yasaba Johnny Hill myaka 56 okuva mu ggwanga erya America obukadde obwa America 4.3 ng’amusuubiza ‘Gold’ 75kg n’okufere munnansi wa Russia obukadde obwa America 4.7 nga naye amusuubiza Gold.

Nduhukire yasabye okweyimirirwa era munnamateeka we Robert Friday Kagoro yategezeza omulamuzi nti omuntu we alina eddembe lye okweyimirirwa ng’asinzira mu ssemateeka wa Uganda.

Mu kkooti, Nduhukire yaleese abantu 5 okumweyimirirwa okwabadde Tumusiime Kamukama omukungu mu minisitule y’ebyobulimi, Mutugirehi Ramadhan omukozi mu  National Drug Authority, Matsiko Musini, Kyaruzi Nadhiry ne Kekimuli Shamila.

Nasser ng'akwatibwa
Nasser ng’akwatibwa

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lwasabye omulamuzi obutayimbula Nduhukire kuba akyali muvubuka era ayinza okutaataganya okunoonyereza.

Omulamuzi Babirye yakiriza Nduhukire okweyimirirwa era yalagiddwa okuteeka obukadde 50 mu kkooti, ekyapa ky’ettaka ne passport ate abamweyimiridde balagiddwa okusasula obukadde 100 ezitali za buliwo.

Omulamuzi yalangiridde nga 16, January, 2019 okuwa ensala ye ku misango ebbiri egivunaanibwa Nduhukire omuli egy’obufere n’okufuna ssente mu lukujjukujju.

Nasser yakwatibwa omwezi oguwedde ogwa November, 2018