• 179
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    179
    Shares

Abatumbuuzi oba ba promoter b’ebivvulu baliko abakulu mu poliisi bebakubye mu mbuga z’amateeka bannyonnyole ensonga lwaki babalemesa okutegeka ekivvulu.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, omumyuka we Brig. Steven Muzeyi Sabiiti n’akulira ebikwekweto ku poliisi Asuman Mugenyi batwaliddwa mu kkooti ng’abantu ssekinomu kuba abategesi bagamba nti basukkiridde okutyoboola eddembe ly’abayimbi n’okubalemesa okufuna ssente.

Abbey Musinguzi aka Abitex
Abbey Musinguzi aka Abitex

Ba promoter basinze kwesiba Ku bivvulu by’omuyimbi Bobi Wine gwe balumiriza nti bbo baamuwa dda ssente zaabwe okuyimba naye nga buli waalina ekivvulu poliisi ekisazaamu.

Ensonga yabwe bagikwasiza munnamateeka Abdullah Kiwanuka kuba bakooye abakulu mu kitongole kya Poliisi okutwalira amateeka mu ngalo nga balemesebwa okutekateeka ebivvulu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agambye nti Poliisi ateekeddwa okunyweza ebyokwerinda era buli muntu yenna ayagala okutekateeka ekivvulu alina okugoberera obukwakulizo obwateekebwawo omuli okuwandikira Martin Okoth Ochola


  • 179
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    179
    Shares