Abantu 10 bafiiriddewo, bangi banyiga biwundu oluvanyuma lw’emmotoka ekika kya TATA namba UAK 227 ekibadde kyettise ebikajjo, okuyingirira abantu, abadde bazina akadodi nga betekeratekera emikolo gy’embalu e Busigu.

Akabenje kabadde ku kyalo Wakisi mu ggoombolola y’e Njeru, ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero.

Ssentebbe w’ekyalo Mohammed Kayima agambye nti TATA ebadde ku misinde egya yiriyiri ate nga terina mataala.

Ouma Ivan myaka 23 omu ku basimatuuse okufiira mu kabenje agambye nti bavudde ku kyalo Wakisi okwolekera kikubamutwe era bangi ku bafudde babadde mikwano gye.

Ate meeya w’ekibuga Nyeru Yasin Kyazze yenyamidde olw’abantu abaafiiridde mu kitundu kye era asabye Poliisi y’okunguudo okwongera abasirikale ku makkubo okuziyiza obubenje n’okulambika ebyentambula.

Okusinzira ku Poliisi, omuwendo gw’abantu abafudde guyinza okweyongera kuba abantu bangi abafunye ebisago.