Kyaddaki Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe alonze Yinginiya Andrew Kitakka okugira nga akola nga executive Director wa Kampala mu kitongole ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) sso nga Ssemuel Sserunkuma alondeddwa ku bumyuka.

Beti Olive Namisango Kamya
Beti Olive Namisango Kamya

Minisita Kamya agamba nti Kitakka ne Sserunkuma bakugira nga bakola emirimu okutuusa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni lwanalonda abakulira ekitongole kya KCCA.

Mungeri y’emu agambye nti emirimu mu kibuga Kampala girina okusigala nga gitambula oluvanyuma lwa Jennifer Musisi Ssemakula okulekulira.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano, Jennifer Musisi yawaayo offiisi mu butongole eri Minisita Kamya.