• 28
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    28
    Shares

Poliisi ezudde amannya g’abantu basatu (3) ku 19 abafiiridde mu kabenje akawungeezi k’olunnaku ku Lwokubiri.

Bbaasi ya Kiryandongo technical institute namba UG 2833E yaremeredde omugoba waayo ku lusozi lwe Tewei mu ggoombolola y’e Sippi e Kapchorwa ku luguudo lwa Kapchorwa-Sironko netta abantu.

Abazuuliddwa kuliko Gloria Muheirwe Barungi okuva Kirasa, Masindi, Noreen Jelibalibatya abadde omutuuze we Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso ne Robert Bills Okello omukozi mu National Cooperative Business Association-NCBA CLUSA mu Kampala.

Okusinzira ku Poliisi, abantu 16 tebanazuula bibakwatako era kiteberezebwa nti bonna babadde bakozi mu National Cooperative League of the United States mu bitundu bye Masindi, Kiryandongo ne Dokolo.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu Sipi Rogers Taitika agambye nti batandiise okunoonyereza ekivuddeko akabenje.

Abantu 6 abasimatuse okufa batwaliddwa mu ddwaaliro lye Mbale ne Kapchorwa okufuna obujanjabi ate emirambo gitwaliddwa mu gwanika.


  • 28
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    28
    Shares