Mu Uganda, Juliana Kanyomozi y’omu ku bayimbi abamanyiddwa mu nsike y’okuyimba nti banyumirwa okwambala ebintu ebirungi.

Juliana bwe yabadde ku Fusion Auto Spa Munyonyo yasobodde okukuba omuziki era abantu bonna bakiriza nti alina talenti kyokka bangi ku badigize n’okusingira ddala abakyala bewunyisa Juliana okulinya ku siteegi okuyimba nga tali mu ngato.

Mu Uganda, abayimbi abakyala abasinga bambala engatto z’obukondo obuwanvu era Juliana y’omu ku bayimbi abagala engatto bwezityo.

Ku Fusion Auto Spa, Juliana bwe yalinye ku siteegi ng’ali mu bigere, abamu ku bakyala bebuziza ebibuuzo ebyenjawulo nga tebalina kudibwamu. Abamu bagambye nti Juliana akaddiye nga takyasobola kuyimba ng’ali mu ngatto z’obukondo ate abamu bagambye nti ayinza okuba ng’ali lubuto ng’embeera temusobozesa kwambala ngatto.