Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda, okudigida obulungi n’okuyingira omwaka omuggya ogwa 2019.

Museveni mu kwagaliza abazukkulu ssekukkulu ennungi n’omwaka omuggya, agambye nti wadde ebitongole ebikuuma eddembe byongedde amaannyi mu kunyweza ebyokwerinda, kyokka ebyokwerinda bitandikira ku gwe ng’omuntu.

Mungeri y’emu, azzeemu okulabula abazukkulu okwewala okunywa ennyo omwenge n’okwewala ebikolwa byonna ebikyamu ebiyinza okuvako obuzibu.

Museveni agamba nti mu kiseera kino abantu bonna bateekeddwa okwatagana ku nsonga yonna eyinza okusanyalaza eggwanga lyabwe.