Omuyimbi Juliana Kanyomozi akyamudde abadigize era bangi bakiriza nti mui Uganda y’omu ku bakyala abalina talenti era abasinga okuyimba wadde akuliridde.

Juliana ku myaka 36, yasobodde okulaga nti mu kisaawe ky’okuyimba y’omu ku bakyala abasobodde okukiyimirizaawo.
Bwe yabadde ku Fusion Auto Spa Munyonyo, Juliana yayimbye ennyimba ezenjawulo kyokka ennyimba zonna ez’omukwano z’akutte abantu omubabiro era bangi ku bagagga b’omu Kampala balinye ku siteegi okumufuwa ssente.

Juliana olw’ennyimba ze omuli Zaabu, Twalina Omukwano, Kibaluma, Mundeke, Nkulinze n’endala zimufudde omukyala owenjawulo mu ggwanga era aweebwa ekitiibwa abayimbi bonna.