Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti Betty Ochan atabukidde ekitongole ekikuuma eddembe ekya Poliisi okutyobola eddembe ly’obuntu n’okuyisaamu Palamenti amaaso.

Ochan agamba nti Poliisi okulemesa omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuyimba olunnaku olw’eggulo ku One Love Beach Busabala kikolwa kyakutyobola ddembe lya buntu era abakulu mu kitongole ekya Poliisi balina okweddako.

Mungeri y’emu agambye Poliisi yaziimudde Palamenti ku nsonga z’okulinyirira eddembe lya Bobi Wine ate nga buli muntu yenna waddembe okutambuza emirimu gye ng’ababaka abalala.

Ochan era awadde Bobi Wine amagezi okuddukira mu kkooti okusalawo kuba Poliisi esukkiridde okuzimuula amateeka.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agamba nti Bobi Wine yalemeddwa okutukiriza obukwakulizo ku ngeri y’okukuuma abantu era y’emu ku nsonga lwaki ekivvulu kyayimiriziddwa.