SOPHIA Namutebi abangi gwe bamanyi nga Maama Fiina alangiridde abayimbi 3 abasinga obunene mu Uganda okuva ku namba emu (1).

Ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero mu kivvulu kya Bebe Cool ‘Mutima gwa Zzaabu’ e Kiwatule, Maama Fiina agambye nti mu Uganda yonna, Bebe Cool ye muyimbi asinga okuyimba era akwata ekisooka.

Eky’okubiri (2) agamba mulimu Bobi Wine ate eky’okusatu (3) ataddemu Jose Chameleone.

Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool, Bobi Wine ne Chameleone balina okukwatagana kuba bonna baana ba Kintu era yeyamye okukola ku nsonga eyo.

Mu kivvulu, Maama Fiina yawaddeyo obukadde bwa shs 4,000,000 okuyambako ku kampeyini ya Bebe Cool Mutima gwa Zzaabu okuyamba okusasulira abayizi ‘school fees’.