•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Sheilah Gashumba muwala wa Frank Gashumba avuddeyo ku bigambibwa nti yagobeddwa ku NTV era asemberedde okwegata ku NBS essaawa yonna.

Mu kiseera kino Sheilah ali Dubai mu ggwanga erya United Arab Emirates era alabiddwako n’abasajja abenjawulo nga balya obulamu.

Abamu ku bannayuganda babadde bagamba nti yagobeddwa ku NTV era Pulogulamu yabwe ‘The Beat’ bagifunidde omukozi omulala.

Wabula Sheilah asobodde okweyambisa omutimbagano gwa yintaneeti era agambye nti ali mu luwumula.

Mu bigambo bye, asobodde okweyambisa Olungereza okuwakanya ebyogerwa abantu, “If being on holiday means being fired then maybe I was“.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •