• 1.1K
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    1.1K
    Shares

Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde ezimu ku nsonga lwaki Poliisi yakwongera okulemesa omuyimbi Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Museveni agamba nti Bobi Wine asukkiridde okusiiga obukyayi, okuseketerera n’okutambuza Kampeyini y’okulemesa era ye ng’omukulembeze w’eggwanga lino, tayinza kumukiriza kweyongera.

Mungeri y’emu agambye nti Bobi Wine yerimbika mu kuyimba, okutambuza obulimba era ye ssaawa okumulemesa.

Ebigambo by’omukulembeze w’eggwanga byogeddwa omutegesi w’ebivvulu Tonny Ssempijja mu Kampala bw’abadde ategeeza nti baafunye ensimbi okuva eri mukulu Museveni okusasula bonna abafiirwa ssente zabwe oluvanyuma lwa Poliisi okulemesa Bobi Wine okuyimba ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018.

Eddoboozi lya Ssempijja


  • 1.1K
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    1.1K
    Shares