• 162
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
  162
  Shares

Omuyimbi Bebe Cool akyaddaki ayogedde amazima ku bigambibwa nti yasindikibwa Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okunafuya omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentemu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Mu kiseera kino Bobi Wine y’omu ku bannabyabufuzi abatawanya Gavumenti kuba akyali muvubuka ate alina abavubuka bangi nnyo abamukiririzaamu.

Kigambibwa mu 2021 y’omu ku bannayuganda abatunuuliddwa okuvuganya Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino Uganda.

Wabula Bebe Cool bw’abadde ku BBS TV mu pulogulamu ‘Amaaso ku Ggwanga’ ekkiro ekikeseza bwabuziddwa oba pulojekiti ya Museveni okunafuya Bobi Wine agambye nti ” Nze ne Bobi Wine tuludde nga tulwanagana mu kisaawe ky’okuyimba ku nsonga ezenjawulo, mukomye okulowooza nti twakatandika nga mukulu wange (Bobi Wine) agenze mu Palamenti. Bobi Wine tulina obutakaanya naye kuba yakola nsobi nnyo okuyimba ku famire yange mu nnyimba ze era alina okwetonda ng’omusajja omukulu”.

Bebe Cool era awakanyiza ebyogerwa nti afuna ssente okuva eri Pulezidenti Museveni okugonza Bobi Wine. Bebe agamba nti Museveni alina obuwagizi okuva mu bannayuganda nga teyetaaga gulirira muntu yenna era ye (Bebe Cool) ne Museveni tebalina budde kwogera ku Bobi Wine.


 • 162
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
  162
  Shares