Omusango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunanibwa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne banne 33 gwongezeddwayo okutuusa nga 14, March, 2019.

Bobi Wine ne banne okuli omubaka we munisipaali y’e Arua Kassiano Ezati Wadri, Jinja East Paul Mwiru, Gerald Karuhanga ow’e Ntungamo eyali omubaka we Makindye Eat Michael Mabikke, Edward Sebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe n’abalala bagulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe nga basinzira kwebyo ebyali mu bitundu bya Arua, nga 13, August, 2018 ebyavirako emu ku mmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubwa amayinja endabirwamu neyiika mu kiseera nga bakomekereza okuwenja akalulu, Kassiano Ezati Wadri keyawangula ng’omubaka w’ekibuga Arua.

Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Ocen lutegezeza omulamuzi Isaac Kintu Nimran nti Poliisi ekyanoonyereza ku musango gwo.

Ku nsonga eyo, munnamateeka w’oludda oluwawabirwa Tony Kitara asabye omulamuzi Kintu omusango okugobwa kuba Gavumenti eremeddwa okufuna obujjulizi, ekiwagiddwa omubaka Gerald Karuhanga.

Omulamuzi era afulumiza ekibaluwa ekiragira abakulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Gulu okuggya mu kkooti nga 14, March, 2019 okulambulula embeera y’ebizibiti eby’abavunaanibwa.