Omusomesa mu disitulikiti y’e Wakiso, asindikiddwa mu kkomera e Luzira myaka 11 lwa kusobya ku mwana myaka 12.

Robert Muwanguzi musomesa ku Bright Way Nursery and Primary school e Buyala yasingisiddwa omusango gwo mu maaso g’omulamuzi Henry Kaweesa Isabirye.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 15, June, 2016 Muwanguzi eyali mukwano gwa maama azaala omwana, yakozesa omukisa nga nnyina w’omwana agenze kuziika, namusobyako.

Muwanguzi abadde ku limanda okuva mu 2016, mu kkooti asabye omulamuzi Kaweesa ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina amaka n’abaana balina okulabirira.

Wabula Josephine Nanyonga akulembeddemu oludda oluwaabi ategezeza omulamuzi nti mu disitulikiti y’e Wakiso, ebikolwa by’okusobya ku baana byeyongedde era Muwanguzi balina okumuwa ekibonerezo ekikakali okuba eky’okulabirako eri abantu abalala.

Omulamuzi Kaweesa agambye nti kkooti esobodde okufuna obujjulizi obulumiriza Muwanguzi okusobya ku mwana okuva eri omwana, maama w’omwana n’omusawo era y’emu ku nsonga lwaki akalize Muwanguzi emyaka 11.