Kyaddaki eyali maneja wa Goodlyfe Chagga awadde ezimu ku nsonga lwaki yayawukana n’omuyimbi Weasel Manizo amangu ddala nga Mowzey Radio yakafa mu February wa 2018.

Chagga agamba nti yali musajja mulungi nnyo eri Weasel n’omugenzi Radio era yali akola bulungi nnyo emirimu gye kyokka obutakaanya bwatandika nga Radio afudde.

Bwe yabadde awayamu naffe yagambye nti,” Weasel alina empisa embi ate tatambulira ku mateeka ng’ali ku mirimu”.

Mungeri y’emu atubulidde nti yewuunya nnyo Weasel okutandiika okwewandiikira ennyimba nga teyebuzizza ku muntu yenna wadde abawandiisi b’ennyimba, ekintu ekitali kirungi.

Chagga era agambye nti kyewunyisa Weasel okumulumbagana mu kiseera kino ng’amwogerako ebigambo ate nga bayawukana dda.

Chagga era agambye nti kyewunyisa Weasel okumulumbagana mu kiseera kino ng’amwogerako ebigambo ate nga bayawukana dda.

Manejja Chagga awadde Weasel amagezi okulabira ku bayimbi abanene omuli Bebe Cool abalina ennyimba enungi era abasobodde okuvuganya ennyo mu kisaawe ky’okuyimba olw’okuba alina abantu abenjawulo abamuwandiikira ennyimba.