Omuwala Shanitah Namuyimbwa amanyikiddwa nga Bad Black akubiddwa peneti omulundi ogw’okusatu.

Okusinzira ku kigatto waffe, Bad Black ali lubuto lwa myezi ena (4) kyokka tekimanyiddwa nanyini lwo.

Bad Black awangalira bweru wa ggwanga era tekimanyiddwa ggwanga lyalimu kyokka kigambibwa mbu alina abasajja abenjawulo baawa ebyalo.

Bad Black alina abaana babiri omuli ne Jonah gwe yazaala mu muzungu David Greenhalgh.

Ono kitaawe yali ayagala kumutwala mu kiseera Black we yali attunkira ne David Greenhalgh mu musango gw’okubulankanya ssente ze bamale bamusibe mu kkomera e Luzira mu 2011.