Omuyimbi Bebe Cool azzeemu okulabula abantu nti omubaka we Kyadondo East Robert kyagulanyi Ssentamu alina okweyawula ne Bobi Wine mu tambuza y’emirimu okusobola okwewala okumenya amateeka.

Bebe Cool asobodde okweyambisa vidiyo, Bobi Wine bwe yali ayogera ku nsonga y’ebyokwerinda ku kivvulu kye ekyali e Busabala mu November wa 2018 kwekusaba abantu okwekeneenya amaaso ga Bobi Wine.

Bobi Wine yategeeza nti abantu baddembe okuyimba ku bintu ebyenjawulo omuli ebyobufuzi bwe kiba nga kikwata ku muntu wabuligyo.
Wabula bwe yali ayogera, yalemwa okutunula mu kamera era y’emu ku nsonga lwaki Bebe Cool asabye abantu okwekeneenya amaaso ge.
Ku nsonga eyo, abamu ku bawagizi b’ekisinde kya People Power, batabukidde Bebe Cool okwesonyiwa Bobi Wine kuba amusiinga nnyo, tayinza kumwenkana.

Ate aba Gagamel abawagira Bebe Cool banukudde aba People Power, bagambye nti omusajja kirabika yali anywedde ebitamiiza oba ebiragalaragala nga y’emu ku nsonga lwaki yalemwa okutunula mu kamera.