Omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania amaliridde okuwasa Tanasha Donna Oketch omukozi ku NRG Radio mu ggwanga erya Kenya.

Wadde Platnumz yayimiriza okwanjula Tanasha ku lunnaku lwa baagalana nga 14, Febwali, 2019, olunnaku olw’eggulo, yamututte namwanjula eri nnyina mu butongole.

Diamond Platnumz ne Tanasha
Diamond Platnumz ne Tanasha

Platnumz okutwala Tanasha eri nnyina, kabonero akalaga nti tewali mukisa gwonna okudingana ne Zari Hassan wadde yamuzaalamu abaana babiri (2).

Kigambibwa famire ya Platnumz yamusaba okunoonya omukazi w’emyaka gye kuba Zari yali mukadde nnyo.

Mu kiseera kino, Tanasha ayongedde okakasa nti Platnumz ali mu mukwano omutuufu era alina esuubi nti essaawa yonna bagenda kumukuba embaga.