Ku Ssande nga 13, Janwali, 2019, omuyimbi Diamond Platnumz ayongedde okulaga nti mwetegefu okwerabira eyali mukyala we Zari Hassan wadde yamuzaalamu abaana babiri.

Platnumz yakutte muganzi we mu kiseera kino Tanasha Donna Oketch omukozi ku NRG Radio mu ggwanga erya Kenya namutwala eri nnyina era bamwanirizza nga muzira.

Omuwala Tanasha yabadde atidde okusisinkana nyazaala we kyokka Platnumz yasobodde okumugumya era bamwanirizza mu ssannyu.

Nyazaala okulaga nti mukamwana amusiimye okuwa mutabani we ebintu, yasobodde okutekateeka ekyemisana era baalidde n’okunywa nga bwe basanyusibwa obuyimba bwa bba Platnumz.