Diamond Platnumz azimbidde nnyina amaka amatiribona agatemya ng’omuntu, agituumye ‘State House’, ekiwadde nnyina essannyu.

Kigambibwa mu Tanzania, Platnumz y’omu ku bayimbi abalina ssente era asobodde okukola ebintu ebyenjawulo omuli okuzimba ennyumba ezipangisibwa, okutandikawo Laadiyo, Ttiivi, Kampuni n’ebintu ebirala.

Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga amaka amatiribona gaasobodde okuzimbira nnyina agawemese obukadde bw’ensimbi.

Platnumz yasobodde okulaga ennyumba ya nnyina bwe yabadde atutte muganzi we Tanasha Donna Oketch omukozi ku NRG Radio mu ggwanga erya Kenya eri abazadde era nnyina yamwaniriza mu ssanyu.