Kyaddaki omuyimbi Juliana Kanyomozi avuddeyo ku bigambibwa nti ali lubuto wakati w’emyezi 2 kwe 3.

Abamu ku bannayuganda babadde bagamba nti Juliana asukkiridde okugejja n’okunyirira ennyo era kirabika bamutaddemu ensigo ali lubuto.

Wabula Juliana bw’abadde ku Ttiivi emu mu Kampala era bwabuziddwa ku nsonga eyo agambye nti,”abantu balina okukomya okulowooza nti buli muntu singa afuna omubiri, ali lubuto, naye buli muntu waddembe okusigaza endowooza ye“.

Ebigambo bya Juliana biraga nti wadde anyirira nnyo ennaku zino, tali lubuto ng’abasinga webalowooza.

Mungeri y’emu agambye nti omwaka 2019, ategese konsati okuyimbira abawagizi be kuba mu kiseera kino alina obuyimba obwenjawulo omuli Zaabu, W’akajanja, Twaala, Omukwano Ogwedda n’endala kyokka agaanye okwatukirizza olunnaku n’omwezi.