Omubaka we Rubaga South mu Palamenti Kato Lubwama alemeddeko nti mu Uganda y’omu ku bantu abateekeddwa okwebuzibwaako mu kisaawe ky’okuyimba ne katemba.

Lubwama agamba nti bangi ku bayimbi mu Uganda tebagala kuwabulwa era y’emu ku nsonga lwaki bangi bakoze ensobi.

Kato Lubwama
Kato Lubwama

Bw’abadde awayamu naffe, agambye nti obutakaanya wakati w’omuyimbi Bebe Cool ne Bobi Wine abuwagira nnyo kuba buyamba ekisaawe ky’okuyimba n’ okusikiriza abawagizi.

Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool, Bobi Wine naye ( Kato Lubwama), bakoze kinene nnyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba n’ebyobufuzi kuba omwaka oguwedde ogwa 2018, amawulire gabadde gatambulira kubo.

Kato Lubwama agamba nti abayimbi balina okumwebaza kuba yeyasooka okuvaayo okwesimbawo okugenda mu Palamenti bangi kwe kulaba nti kisoboka, Bobi Wine kwekuvaayo ate 2021 bangi bagenda kuvuganya.

Omubaka Lubwama era agamba nti Bebe Cool bonna abasinga kuba ye tali mu Palamenti kyokka asobodde okulaga nti y’omu ku bannayuganda abogerwako mu kiseera kino.