Abantu 15 bebakakakasibwa nti bafiiridde mu bulumbaganyi obwakoleddwa mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi ku Hotero DusitD2 akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Omu ku batujju
Omu ku batujju

Olunnaku olw’eggulo, abatujju b’akabinja ka al-Shabaab abalina amakanda mu ggwanga erya Somalia, bewaanye nti be baakoze obulumbaganyi omuli okutta abantu, okubalumya n’emmotoka zakubiddwako bbomu.

Okusinzira ku batuuze, mu 15 abattiddwa mulimu ne munnansi wa America.

Okusinzira ku minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Fred Okengo Matiang’i, ebitongole ebikuuma ddembe bisobodde okweddiza Hotero eyalumbiddwa okuva mu mikono gy’abatujju, abantu abasukka mu 100 banunuddwa, abasukka 30 baweereddwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo wabula okunoonya abatujju kukyagenda mu maaso.

Mu kiseera kino ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga Nairobi era kigambibwa omu ku batujju yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo.

Hotero DusitD2 eyalumbiddwa abazigu erina ebisenge 101, esangibwa Westlands mu kibuga Nairobi era efuna abantu abasukka mu 200 buli lunnaku.