Kyaddaki Emilian Kayima awaddeyo offisi eri Fred Enanga eyalondeddwa okudda mu bigere bye sabiti ewedde ku Lwomukaaga.

Omukolo gubadde ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero.

Mu kuwaayo offiisi, Kayima asiimye abantu bonna abasobodde okumukwasizaako n’okumwanguyiza okutambuza emirimu ng’omwogezi wa Poliisi omuli bakama be, basirikale banne ne bannamawulire.

Ate Enanga asiimye Kayima emirimu gy’akoze ebbanga ly’amaze mu kifo ekyo era asuubiza okweyambisa obumanyirivu bw’alina okukola obulungi emirimu.

Kaminsona Fred Enanga, kati ye mwogezi wa Poliisi era ng’agenda kumyukibwa ACP Polly Namaye Bagambaki.

Ekifo kya Enanga ky’abaddemu ekya Komisona avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu e Kibuli mu kitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, kiteekeddwaamu CP Vennanse .B. Tumuhimbise.

Patrick Onyango, abadde amyuka Kayima, kati y’ayogerera Poliisi mu Kampala n’emiriraano, ng’abadde mu kifo kino, C/ASP Luke Owoyesigyire, y’amumyuka. Kayima yatwaliddwa mu kitongole kya Poliisi ekyebyempuliziganya n’ebiwandiiko (Communication and Publication) gy’agenda okukolanga Kaminsona.