Omukazi nkubakyeyo eyeyita Goolixy Curx okuva mu ggwanga erya Sweden azzeemu okulumiriza Kansala we Kawempe South mu lukiiko lwa Kampala Capital City Authority (KCCA) Mohammed Ssegirinya okumukuba amatooke okumala ennaku 6.

Ssegirinya yavuddeyo nawakanya eky’okugaanza omukyala yenna mu ggwanga erya Sweden era yalabudde omukyala Goolixy Curx okukomya okusasaanya ebigambo kuba bimuswaza ate mukyala mukulu ali mu myaka 70 era amutwala nga jjajja we.

Muhammad Ssegirinya
Muhammad Ssegirinya

Wabula omukyala Goolixy Curx agambye nti alina emyaka 42 n’abaana 6 kyokka Ssegirinya okugamba nti alina emyaka 70, kiswaza.

Goolixy Curx agamba nti “Lekerawo okulimba ensi, wankwana oli ku Face Book, wali onjagala era wanjagala nnyo ng’ompita ddaali, sweet kati olwaleero nina emyaka 70, 50 nina kubeera jjajja wo naye kasajja gwe Ssegirinya omanyiira, nesonyiwa am proud to be 42 years, I have six health kids am so proud, am just enjoying my life okitegeera era nejjusa gwe Ssegirinya lwaki waggya mu bulamu bwange kubanga walina Target kuba okimanyi nina ssente era wali oyagala mpapula, Ssegirinya kirizza amazima, gwe ayagala okuba Member wa Parliament, okwata otya ka vidiyo k’obuseegu n’okateeka ku Page yo, Mukama akusasire Ssegirinya, lekerawo okulimba abantu kuba tolina conference gye wagendamu, wali waka wange nga nkulabirira, nkulambuza, yogera amazima. Nze gwoyita emyaka 70 wawomerwa era wali ku test Drive, wanyumirwa buli kimu gyawo amaalo Ssegirinya era obuzibu bw’olina olina amaalo”.