Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga, UNEB enkya ya leero, kifulumizza ebyava mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu (P7) eby’omwaka oguwedde ogwa 2018.

Okusinzira ku bifulumiziddwa, abayizi 77, 133 bayitidde mu ddaala erisooka, 272, 861 mu lyakubiri, 142, 201 mu lyakusatu, 107, 398 mu lyakuna, ate 56,105 bagudde n’enkoona n’enywa.

Abayizi basinze kukola Science, SST akutte kyakubiri, Olungereza lukutte kyakusatu ate okubala kwe basiinze okukola obubbi.

Ku bayizi 65 abatuula ebigezo nga basinzira ku kkomera e Luzira, 2 bayitidde mu ddaala erisooka, 26 mu lyakubiri, 15 lyakusatu, 4 lyakuna ate 7 bagudde.

Abayizi 3500 ebigezo byabwe bikwatiddwa era ku mulundi gunno beyongedde bwogerageranya n’ebyakwatibwa mu 2017, 2,559.

Omwaka 2018, abayizi 671,923 abewandiisa nga ku bbo abayizi 659,633 bebatuula ebigezo ate 12, 293 tebatuula olw’ensonga ez’enjawulo.