Munnamawulire Douglas Lwanga owa NBS atabukidde abayimbi okusirika obusirisi ku mateeka amaggya Gavumenti gereeta okulambika ekisaawe ky’okuyimba.

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, Peace Mutuzo yakulembeddemu okuleeta amateeka okulambika abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannanyini bifo.

Ebimu ku biri mu tteeka eriretebwa

Buli muyimbi alina okufuna layisinsi okumukiriza okuyimba mu Uganda, buli muyimbi alina okufuna olukusa okuva mu minisitule okumukiriza okukwata vidiyo, omuyimbi yenna okugenda okuyimba ebweru w’eggwanga lina okufuna olukusa okuva mu Gavumenti, abayimbi bonna balina okwambala obulungi ku siteegi.

Abayimbi abanaakozesa ebigambo ebiwemula ku siteegi,  bakangavulwa, bagibweko layisinsi, okunywa ebiragalaragala omuli enjaga mu bayimbi kuwereddwa, omuyimbi omukyafu tebaggya kumukirizza kulinya ku siteegi, omuyimbi yenna singa ayimba ebweru w’eggwanga nga takiriziddwa, wakangavulwa omwaka mulamba nga tayimba n’obukwakulizo obulala era mbu byonna bikoleddwa okutebenkeza ekisaawe ky’okuyimba.

Wabula Douglas agamba nti tewali muyimbi yenna yavuddeyo ku nsonga ezo, ekintu ekyobulabe eri ekisaawe ky’okuyimba.

Agamba nti abayimbi balina okuvaayo okwenyigiramu n’okumanya Pulaani ya Gavumenti wabula singa tebavaayo mangu, Gavumenti byeyagala bigenda kuyisibwa, ate abayimbi banyigirizibwe.

Mungeri y’emu agambye nti obutamanya tteeka, tekitegeeza nti tolina musango era abayimbi balina okwebereramu ku nsonga ezo okusinga okwemulugunya mu nkukutu.