Omuyimbi Diamond  Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania ali kutekateeka okuwasa Tanasha era yali ategese olunnaku olw’abagaalana nga 14, Febwali, 2019 (Valentine’s Day) kyokka yayimiriza emikolo omwezi gunno ogwa Janwali nga gwakatandika.
Bangi ku bantu ku mitimbagano gya yintanenti bagamba nti Tanasha asinga nnyo ZariHassan obulungi ate akyali muwala muto wabula abamu bagamba nti Zari wadde yali mukyala mukulu nnyo ku Platnumz yali mukyala mulungi ate ng’alina empisa.

Twebuuza ku Zari ne Tanasha ani asinga obulungi n’okunyirira

Muganzi wa Platnumz, Tanasha Donna Oketch omuggya

Zari Hassan eyali mukyala wa Platnumz era yamuzaalamu abaana ababiri