Entiisa ebukidde abatuuze ku kyalo Katanda 11 cell mu ggoombolola y’e Nyakayojo mu Monisipaali y’e Mbarara, ssemaka Domiano Kasaana atemera mu gy’obukulu 71 bwe yatuze, ne yetta oluvanyuma lw’okutta mukyala we Kyamuhangi Kasaana.

Okusinzira ku batuuze, ssemaka yakubyekubye mukyala we, okutuusa lwe yafudde ng’amulumiriza okumulemesa okutunda ettaka lya Famire, asobole okufuna obujanjabi.

Wabula ssentebe w’ekyalo James Kajungu agambye nti abafumbo abo, baludde nga balina obutakaanya era kiteeberezebwa kyekyavuddeko obuzibu.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi Samson Kasasira, agambye nti emirambo gyombi, basobodde okugyekebejja era giwereddwa abenganda okutekateeka okuziika.

Mungeri y’emu asabye abatuuze okukomya okutwalira amateeka mu ngalo wabula okweyambisa Poliisi okugonjoola obutakaanya mu maka gaabwe.