Minisita w’eggwanga omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Suubi alonze Nnalungi wa Uganda ne Africa yonna, Quinn Abenakyo nga Ambasadda w’ebyobulambuzi mu ggwanga lino, agenda okuyambako okutumbula ebyobulambuzi.

Minisita Kiwanda agamba nti Quinn Abenakyo agenda kuyamba nnyo okutumbula ebyobulambuzi mu Uganda mu bweru wa Uganda era bakutambula naye mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Mungeri y’emu agambye nti Kampeyini y’okulambula, yakutandika nga 12, Febwali, 2019 era bakutandikira mu bitundu okuli Jinja, Mbale, Karamoja, Kidepo n’ebintu ebirala.

Minisita Kiwanda ne Quinn Abenakyo
Minisita Kiwanda ne Quinn Abenakyo

Minisita Kiwanda akowodde bannayuganda bonna okumwegattako mu kulambula eggwanga lyabwe.

Wabula Quinn Abenakyo asuubiza, okutekamu amaannyi, Uganda okudda ku ntiiko mu byobulambuzi n’okusikiriza abalambuzi okuggya mu ggwanga lino Uganda.

Quinn Abenakyo agattiddwa ku Zari Hassan eyalondebwa omwaka oguwedde ogwa 2018 nga Ambasadda w’ebyobulambuzi era ye emirimu yagitandika dda.