Kyaddaki Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi awakanyiza ebiyitingana nti Zari Hassan yagobeddwa ku bwa Ambasadda w’ebyobulambuzi mu ggwanga lino.

Zari yaweebwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi omwaka oguwedde ogwa 2018 era asobodde okutambula ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, okulaga bannayuganda ebyobulambuzi ebyenjawulo.

Bangi ku bannayuganda babadde bagamba nti, Zari yagobeddwa oluvanyuma lwa Minisita Kiwanda, okulaga bannamawulire Nnalulungi wa Uganda ne Africa Quiin Abenakyo nti naye awereddwa obwa Ambasadda mu kutumbula ebyobulambuzi.

Wabula Minisita Kiwanda asambazze ebiyiting’ana nti Zari yagobeddwa.

Minisita Kiwanda agamba nti Zari ne Quiin Abenakyo bonna bakyali ba Ambasadda mu kutumbula ebyobulambuzi era bakyetaaga n’abantu abalala.

Quiin Abenakyo
Quiin Abenakyo

Mungeri y’emu agambye nti Zari alina abantu bangi nnyo abamukiririzaamu nga y’emu ku nsonga lwaki baamusembeza.