1 – Omuyimbi akozesa ebiragalalagala omuli enjaga ajja kuba azizza musango era talina kulinya ku siteegi.

2 – Omuyimbi yenna aneewaggula n’ayimba ebweru wa Uganda nga tafunye lukusa okuva mu Gavumenti, layisinsi ye ejja kusazibwamu.

3 – Wajja kuteekebwawo olukiiko olusunsula n’okuyita mu biyiiyiziddwa n’okukwasisa empisa eri abayimbi bonna mu ggwanga lino.

4 – Omuyimbi yenna alina okufuna olukusa okuva mu minisitule okukirizibwa okuyimba mu kivvulu kyonna.

5 – Tewali muyimbi yenna agenda kukkirizibwa kukwata vidiyo nga tamaze kufuna lukusa okuva mu minisitule.

6 – Buli muyimbi alina okuwandisa ennyimba ze mu minisitule.

7 – Omuyimbi ayambadde mu mbeera eyeesittaza tajja kukkirizibwa kulinnya ku siteegi yonna mu Uganda. 8 – Buli mutegesi w’ekivvulu alina okuteekawo eby’obujjanjabi ebisookerwako eri abayimbi ku kivvulu n’abantu babuligyo.

9 – Omuntu ojja kusooka kufuna layisinsi okukola omulimu gw’okuyimbi mu Uganda.

10 – Omuyimbi tajja kukkirizibwa kuyimba mu bifo ebisukka mu kimu nga tewannayita ssaawa nnya ng’amaze okuyimba mu kivvulu ekisooka.

Abayimbi omuli Eddy Kenzo, David Lutalo, Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy, Mathias Walukagga, Dr. Hilderman, Roden Y Kabako, Haruna Mubiru, n’abalala bagamba nti Gavumenti byereeta bigendereddwamu okubanyigiriza n’okubalemesa okuyimba.

Abamu bagambye nti Bobi Wine n’abayimbi abalala okwenyigira mu byobufuzi y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti emaliridde okubayigiriza.