Bya Nalule Aminah

Ssentebbe w’ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba ekya Federation of Performing Artistes of Uganda (FPAU), Andrew Benon Kibuuka asambaze ebyogerwa nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yamuwa obukadde 400, okuzimba offisi y’abayimbi ne bannakatemba.

Kinnajjukirwa nti omwezi ogw’omusanvu, omwaka 2015 mu kivvulu kye Kyepukulu e Namboole, ekyategekebwa Abtex promotions, Mukulu Museveni yasuubiza obukadde 400, eri abayimbi, okuzimba offisi yabwe, kibayambeko okulongoosa omlimu gwabwe.

Okuva olwo, bangi ku bayimbi ne bannakatemba babadde bagamba nti ensimbi ezo, zaweebwa omukulembeze wabwe Benon Kibuuka nazikozesa ebibye.

Wabula enkya ya leero Andrew Benon Kibuuka bw’abadde awayamu naffe mu Kampala agambye nti Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni tamuwangayo wadde 100 ku ssente zeyasuubiza abayimbi mu 2015.

Mungeri y’emu asabye abayimbi okunoonyereza ku nsonga bwezityo okusinga okusasaanya ebigambo okwonoona amannya g’abantu abalala.


  • 268
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    268
    Shares