Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga Uganda kalangiridde nti ketaaga obuwumbi 428, okutekateeka okulonda kwa 2021.

Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko, omulamuzi Simon Byabakama entekateeka z’okulonda zakutambula ku mitendera egy’enjawulo omuli okuddamu okutereeza ebifo ebirondebwamu, okufuna ebyuma ebineeyambisibwa mu kiseera ky’okulonda, okufuna emmotoka ezineeyambisibwa mu bitundu ebimu, okusomesa abalonzi mu ggwanga lyonna n’ebintu ebirala.

Bw’abadde mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka okuwaayo bajjeti ya 2019 – 2010, Byabakama agamba nti omutendera ogusooka gwetaaga obuwumbi 139 ate ogw’okubiri era ogusembayo obuwumbi 283.

Ate ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Sam Asiimwe Rwakoojo asabye Palamenti ensimbi okufulimizibwa mu bwangu, okusobola okutekateeka obulungi nga balina obudde.