Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avuddeyo ku mateeka Gavumenti geteekateeka okulungamya ekisaawe ky’okuyimba omuli abayiiya, abayimbi, abazannyi ba firimu ne bannakatemba n’abategesi b’ebivvulu.

Minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, yekulembeddemu okukola ennongoosereza mu mateeka wadde abamu ku bayimbi bakiwakanya.

Agamu ku mateeka
Wajja kuteekebwawo olukiiko olusunsula n’okuyita mu biyiiyiziddwa n’okukwasisa empisa.
Omuyimbi akozesa ebiragalalagala ajja kuba azizza musango.
Tewali muyimbi ajja kukkirizibwa kuyimba bweru wa ggwanga nga tamaze kufuna lukusa okuva mu minisitule.
Tewali muyimbi agenda kukkirizibwa kukwata vidiyo nga tamaze kufuna lukusa okuva mu minisitule.
Omuyimbi ojja kusooka kufuna layisinsi okukola omulimu guno.
Gujja kuba musango okuyimba mu bivvulu oba mu lujjudde nga tofunye layisinsi okuva mu minisitule.
Omuyimbi tajja kukkirizibwa kuyimba mu bifo ebisukka mu kimu nga tewannayita ssaawa nnya.
Omuyimbi ayambadde mu mbeera eyeesittaza tajja kukkirizibwa kulinnya ku siteegi. Buli mutegesi w’ekivvulu alina okuteekawo eby’obujjanjabi ebisookerwako eri abayimbi ku kivvulu.
Omuyimbi aneewaggula n’ayimba ebweru nga tafunye lukusa layisinsi ye ejja kusazibwamu.
Buli muyimbi ajja kuwandisanga ennyimba ze mu minisitule.

Wabula Bobi Wine asinzidde ku CNN era agambye nti Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni esukkiridde okuleeta amateeka okunyigiriza abantu mu ggwanga lyabwe.

Mungeri y’emu agambye nti amateeka ku bayimbi galeeteddwa okumunafuya kuba abadde yeyambisa omuziki okusomesa abantu ebikyamu ebikolebwa Gavumenti ya Museveni.
Bobi Wine agamba nti mu Uganda, bamulemesa okuyimba kyokka bwe yabadde mu ggwanga erya Kenya ne Jamaica, ensi yonna yasobodde okumanya ebyabadde mu bivvulu ebyo era y’emu ku nsonga lwaki amateeka agamu galetebwa okumulemesa.

Agamba nti bannansi balina okuvaayo okukyusa obuyinza mu 2021, okusobola okuddamu okweyagalira mu ggwanga lyabwe n’okwambale engule nga bawangudde.

 


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •