Kyaddaki omuyimbi Fille Mutoni avuddemu omwasi ku bigambo ebiyitingana nti ye ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats owa NBS tebakwatagana.

Kimanyiddwa nti Fille ne Mc Kats balina obutakaanya wadde balina omwana era mbu bayawukanye ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2019.

Fille ne MC Kats
Fille ne MC Kats

Wabula Fille agamba nti wadde balina obutakaanya ne Mc Kats, tayiinza kumwerabira mu bulamu bwe kuba ye taata w’omwana we ate ye muntu eyamuggya mu kyalo era muwa ekitiibwa.

Mungeri y’emu agambye nti Mc Kats akoze nnyo mu kutumbula talenti ye n’okumanyika mu kisaawe ky’okuyimba era tewali mbeera yonna eyinza kuvaako kuwanyisiganya bisongovu.

Fille agamba nti ye ne Mc Kats balina okutuula awamu kuba alina omwana we ate bavudde wala nnyo era balina okukaanya.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •