Poliisi y’e Masaka etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mwana w’essomero Brenda Nansubuga myaka 17.

Nansubuga, abadde muyizi ku St. Elizabeth Social Centre-Gulama mu S3 era yasangiddwa ng’atugiddwa mu nnyumba mu kitaba ky’omusaayi ku kyalo Kakinda-Gulama mu ggoombolola y’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka mu kiro ekyakeseza ku Lwomukaaga nga 2, Febwali, 2019.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Lameck Kigozi, abatemu basobodde okweyambisa waaya okutuga Nansubuga oluvanyuma lw’okumusobyako.

Lameck agamba nti ku Lwomukaaga ekiro, nnyina w’omugenzi yabadde egenze ku mikolo mu kibuga Kampala era yagenze okudda ng’omwana we Nansubuga z’embuyaga ezikunta.

Omulambo, gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka okwekebejjebwa nga Poliisi bwenoonyereza abatemu.

Eddoboozi lya Lameck


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •