Eyali Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Maj Gen Mugisha Muntu alambuludde ku ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okulangirira nti mu 2021 agenda kuvuganya ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Bobi Wine yabadde ku mukutu ogwa CNN kwekutegeeza nti 2021 alina esuubi okwesimbawo, okusobola okukyusa obuyinza ne bannayuganda okwediza eggwanga lyabwe okuva mu mikono gy’abantu ababanyigiriza.

Ku nsonga eyo, Maj Gen Muntu agamba nti buli muntu yenna alina eddembe lye okulangirira okuvuganya ku bwa Pulezidenti.

Muntu agamba nti wadde Bobi Wine yalangiridde, basobola bulungi nnyo okolagana era buli muntu yenna mu kibiina kyonna omuli Democratic Party (DP), Jeema n’ebirala, basobola okulangirira.

Maj Gen Muntu agamba nti ekikulu mu kiseera kino kwekuleeta amaanyi agawamu okusobola okutukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okuleeta omuntu omu asobola okuleeta obuwanguzi bwabwe.

Mu kiseera kino Muntu alindiriddwa okutongoza ekibiina kye ekya ‘New Formation’ okusobola okwetekateeka okwesimbawo mu 2021 ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga.