• 219
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    219
    Shares

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu bukulu bwe ng’omuduumizi ow’oku ntikko ow’amagye akuzizza bannamagye abalala okuli ne Muhoozi Kainerugaba.

Muhoozi
Muhoozi

Okusinzira ku mwogezi w’amaggye aga Uganda People’s Defence Forces (UPDF) Brig Richard Karemire, mutabani wa Pulezidenti Museveni, Muhoozi Kainerugaba y’omu ku 2031 abakuzziddwa era aweereddwa obwa Lieutenant General okuva ku Major General.

Peter Elwelu
Peter Elwelu

Mungeri y’emu n’akulira eggye ery’oku ttaka Maj. Gen. Peter Elwelu naye aweereddwa obwa Lieutenant General okuva ku Major General n’abalala bangi abawereddwa amayinja.

Muhoozi yayingira amagye mu 1999 era bwe yamala okutende kebwa mu ttendekero ly’amagye ery’amaanyi eriyitibwa Royal Military Academy Sandhurst mu 2000 n’asindikibwa mu kibinja ekikuuma Pulezidenti.

Ebitonotono ku Muhoozi Kainerugaba

1 – Yazaalibwa April 24, 1974, alina emyaka 44.

2 –  Yasomera Kampala Parents, King’s College Budo, St. Mary’s College Kisubi era yeeyongerayo n’emisomo e Tanzania ne Sweden n’atikkirwa mu 1994.

3 – Mu byafaayo bye, Muhoozi yagamba nti yatandika okutendekebwa mu by’ekijaasi mu 1996, kyokka kyamutwalira emyaka esatu okuyingira amagye mu butongole.

4 – Mu 2001 yakuzibwa n’afuulibwa Major ate bwe yamaliriza okutendekebwa mu ttendekero ly’e Leavenworth mu 2008 n’akuzibwa n’afuulibwa Lieutenant Colonel era n’aweebwa n’obuduumizi bw’ekibinja ekikuuma Pulezidenti.

 


  • 219
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    219
    Shares