• 361
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
  361
  Shares

Kyaddaki omuwala Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya era mukyala w’omuyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz omuggya abikudde ekyama lwaki ali mu mukwano mu kiseera kino.

Platnumz yali bba w’omukyala Zari Hassana nga balina abaana babiri (2) kyokka baafuna obutakaanya ne bawukana mu 2017.

Embeera eyo, Platnumz yafuna abakyala abenjawulo okukyusa ku woyiro omuli Hamisa Mobetto n’abalala.

Mu kiseera kino alina omuwala Tanasha era atekateeka kumukuba kiddaala.

Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuwa abakyala amagezi engeri gye bayinza okusikiriza abasajja oba abaami okufuna abakyala.

Tanasha agambye nti, “Your mind is a powerful thing. When you fill it with positive thoughts, your life will start to change. ~ THE LAW OF ATTRACTION.“, ekivuunulwa nti, ” Obwongo bwo kikulu nnyo, singa olowooza ebigambo ebikuzimba, obulamu bwo bukyuka, era lye tteeka ly’okusikiriza”.


 • 361
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
  361
  Shares