•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Omuyimbi Desire Luzinda alabudde abazadde ku ngeri gye bateekeddwa okulambika abaana ku nsonga y’essimu.

Luzinda agamba nti omuzadde yenna alina obusobozi, asobola okuwa omwana we ssimu kyoka singa omwana yenna aweebwa ssimu, omuzadde alina okumulondola okumutangira okugyeyambisa mu ngeri enkyamu.

Luzinda okulabula abazadde, kidiridde okuteeka ekifaananyi ku mukutu ogwa Instagram nga muwala we Mitchelle Kaddu akutte ssimu, ekiraga nti wadde amassimu galina obuzibu, toyinza kulemesa mwana kweyagala kuba buli lunnaku tekinologye yeyongera.

Abaana okweyambisa amassimu, abamu benyigidde mu bikolobero omuli okutandika omwezi ku myaka emito, kyokka ebigambo bya Desire Luzinda, biraga nti wadde omwana we Mitchelle amukirizza okukwata essimu, kyokka asobodde okutekawo embeera okusobola okulemesa abasajja okumukuba amatooke.


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •