•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Mu nsi yonna, akaboozi y’emu ku mpagi eyimirizaawo amaka era singa omukyala oba omusajja alemwa okukitukiriza, obufumbo buyinza okusajjuka.

Mu mbeera eyo, Omukyala Vivianne Birungi eyafuuka Jalia Birungi oluvannyuma lwa bba ‘omugagga’ Sulaiman Kabangala amanyiddwa nga SK Mbuga okumukuba embaga ali mu ggwanga yeeriira bulamu mu ngeri ezenjawulo.

Omanyi bba SK Mbuga baamukwata mu February w’omwaka oguwedde ogwa 2018 ku bigambibwa nti alina omugagga w’omu Sweden gwe yafera obuwumbi 23 ng’era w’osomera bino ng’ali mu nkomyo e Dubai.

Amawulire getufunye, galaga nti omukyala Vivianne alina omusajja omulala okuyambako SK Mbuga okufukirira vuvuzera n’okulwanyisa nabbubi okuziba omulyango.

Mungeri y’emu mbu Vivianne atandiise okutunda ebintu by’omusajja SK Mbuga omuli emmotooka ezebbeeyi okuva mu maka g’e Buziga Konge, okutunda ennyumba z’obupangisa Muyenga n’ebitundu ebirala.

Kigambibwa omukyala n’omusajja we omulala, balemeddeko okutunda eddwaaliro erizimbibwa e Kansanga kyokka tekimanyiddwa oba Vivianne yafunye olukusa okuva eri SK Mbuga.

Embeera eyo, eyinza okuvirako SK Mbuga okuzirika singa anakitegeera nti omukyala ali ku bintu bye atunda.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •