Munnamawulire Tamale Mirundi agumizza omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ku buyambi okuva eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu kuzimba essomero.

Bryan White amaliridde okuyambako Gavumenti okulwanyisa abavubuka abegumbulidde okunywa ebiragalaragala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Bryan White yagula ettaka mu bitundu bye Busunju mu disitulikiti y’e Mityana era ali mu ntekateeka okutekako pulojekiti ezenjawulo omuli essomero erisomesa eby’emikono n’ekifo ekigenda okuyamba abavubuka okuva ku biragalaragala omuli n’enjaga.

Sabiti ewedde, Tamale Mirundi yalambuddeko Bryan White e Busunju era yatendereza pulojekiti ezitandikiddwawo okuyamba abantu.

Bryan White yasobodde okulambulula ku pulojekiti ezenjawulo omuli abavubuka abakyusiddwa okuva ku biragalaragala okuddayo mu ssomero kyokka Tamale Mirundi yagumizza Bryan White nti ku ky’essomero, alina essuubi nti Gavumenti esobola okuvaayo okuyamba singa bagiwa ekirowoozo ekyo.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •