•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Zari Hassan alina emyaka 38, mukyala muzadde alina abaana bataano (5), basatu (3) yabazaala mu mugenzi Ivan Semwanga ate babiri (2) mu muyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz.

Zari yafuna  obutakaanya ne Platnumz ne bawukana mu 2017 era mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa kuba omukwano gwe agutambulizza ku mitimbagano.

Wadde talina musajja mu kiseera kino, y’omu ku bakyala abasikiriza era abeegombesa kuba ategeeera okwekolako okusobola okwekuumira ku mutindo.

Diamond Platnumz
Diamond Platnumz

Wadde alina abaana 5 n’emyaka 38, asobodde okuteeka ekifaananyi ku mukutu ogwa Instagram, era bangi ku bagoberezi be bagambye nti omukyala alina Work era buli kyakola agezaako okulaga Platnumz nti yasuubwa nnyo vuvuzera ye.

View this post on Instagram

Cooling off….?‍♂️

A post shared by zarithebosslady (@zarithebosslady) on


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •