•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Gavumenti ewadde omukisa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okutukiriza ekirooto kye.

Bobi Wine y’omu ku bannayuganda abakulembeddemu Okunga abantu okwewandiisa okufuna Densite y’eggwanga, okusobola okwetaba mu kulonda kwa 2021.

Bobi Wine bwe yabadde ku mukutu ogwa CNN yagambye nti alina essuubi okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga mu 2021 okusindikiriza ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni.

Agamba nti mu Uganda, abavubuka bebasinga obungi era singa bewandiisa okufuna ‘ndaga muntu’, basobola okukyusa obuyinza mu 2021.

Mu mbeera eyo, olunnaku olwaleero, ekitongole ekivunaanyizibwa densite ekya ‘National Identification and Registration Registry’ (NIRA) lwe kitandika okuwandiisa abantu okufuna Densite okumala emyezi esatu (3).

Omwogezi w’ekitongole kya NIRA, Gilbert Kadiro, agamba nti okuwandiisa abantu kuteekeddwa ku muluka, ggoombolola ne ku bitebe bya Kampala Capital City Authority (KCCA) mu Kampala eri abantu abatalina Densite okuva ku myaka 16 okudda wagulu.

Kadiro era agambye nti okwewandiisa kutandiika olunnaku olwaleero ku Mmande nga 11, Febwali, 2019 era akubiriza abantu bonna abatalina Densite okwewandiisa.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo abantu abewandiisa kyokka ne balemwa okuggyayo Densite zabwe, balina omukisa okuzifuna mu kiseera kino nga bawandiisa abantu.

Bobi Wine bw’aba alina ekirowoozo nti singa bannayuganda bafuna Densite ne bajjumbira okulonda mu 2021 ayinza okulya obwa Pulezidenti, mu kiseera kino mukyala we Barbie Itungo ali mu kweteekateeka ku asemberedde okufuna obwa First Lady.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •