Kattikiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga asambaze ebigambo ebyogerwa nti essaawa yonna agenda kulondebwa okumyuka omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okudda mu bigere bya Edward Kiwanuka Ssekandi mu nkyukakyuka ezigenda okukolebwa.

Okuva sabiti ewedde, bangi ku bannayuganda bagamba nti Museveni okukyalira Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu lubiri e Banda, emu ku nsonga eyamutwalayo, kwekumutegeeza nti essaawa yonna, Peter Mayiga agenda kumulonda okumumyuka.

Museveni ne Kabaka e Banda
Museveni ne Kabaka e Banda

Wabula Kattikiro Mayiga asobodde okweyambisa emitimbagano gya yintanenti omuli Face Book ne Twitter, okusabulula ebyogerwa abantu okuva sabiti ewedde.

Mayiga agambye nti tagenda kumyuka Museveni kuba akyalina emirimu Kabaka gye yamukwasa gyakola mu kiseera kino.

Ku Face Book agambye nti, “Waliwo olugambo olutambula nti ngenda kulondebwa ku bwa VP; era nti President M7 yasisinkana Kabaka Mutebi II mu Lubiri e Banda okumutegeeza amawulire g’okubeera omumyuka we. Sigenda kubeera VP. Nnina omulimu Kabaka gwe yankwasa era gwendiko. Ate nze sikukuta. Akuume. CPM“.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •